Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 212 listening Simba FM Live

Aba Takisi ezitali mpandiise temugeza okuzivuga – Minisita

June 4, 2020 · Mubiru Ali

Ng’entambula ey’olukale eddamu olunaku lw’enkya, emotoka ezo zokka ezewandiisizza zezigenda okukirizibwa okuddamu okukola. Bino byebyavudde mu lukiiko olwatudde olunaku lw’eggulo nga lwetabiddwamu Minisita w’ebyentambula n’enguudo Edward Katumba Wamala, Baminisita ba Kampala, Minisita w’ebyokwerinda Elly Tumwine wamu n’abakungu okuva mu kitongole kya Kampala Capital City Authority – KCCA kwogatta n’Abakulembeze babagoba ba Taxi nga lwabadde wali ku offiisi ya Ssaabaminisita.

Okuwandiisa Taxi kukyagenda mu maaso wali ku ssomero lya Kitante Primary School ne Old Kampala Secondary School webagabira ennamba z’enguudo wamu langi okusobola okuzaawula.

Ye Minisita wa Kampala n’emiriraano, Betty Amongi yategeezezza nga Taxi bwezirina okuwandiisibwa wamu n’ebibiina ebizitwala era nti wakubaawo n’ebifo ebyeyawulidde booda booda wezirina okusimba era n’enguudo mwezirina okuyita.

Yo KCCA yategeezezza nga bwewagenda okubeerawo ebitundu nga Booda booda tezikirizibwayo okuleka ezo zokka ezitwalayo ebitereke era nga zirina okuwandiisibwa ne Minisitule y’ebyentambula Minisita Amongi bweyagambye.