Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 453 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Aba Rotary bavuddeyo ku butonde bw’ensi

July 14, 2017 · Mubiru Ali

Akulira ebibiina bya Rotary mu  Yuganda ne Tanzania Keneth Mugisha agamba nti tebayinza kutunula butunuzi nga obutonde bw’ensi butyoboolwa enkya n’eggulo nga kino ob’olyawo kyekiviiriddeko ebirwadde ebikakali okwegiriisiza mu bantu.

Kenneth Mugisha asinzidde mu Disitulikiti y’e Mityana ng’eno gy’atongolezza kaweefube ow’okusimba emiti ng’e rimu ku kkubo ely’okutaasa obutonde bwensi obutyobooleddwa era ng’ono kaweefube  amutandikidde mu kibiina ekya Rotary ettabi ely’e Mityana era wano waasinzidde n’agamba nti alina ekiluubirirwa eky’okulaba nga basimba emiti egisukka mu bukadde kkumi buli mwaka .