Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 405 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Aba People Power mu mbuulire kyemwagala nkole – Hon. Adome

July 24, 2019 · Mubiru Ali
Omubaka Adome Bildad Moses akiikirira Jie County okuva e Kotido nga munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM avuddeyo nawakanya okulondebwa kwe nga agenda okukulira akakiiko ke Karamoja akagenda okutambuza emirimu gy’ekisinde kya mubaka munne owa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine ekya People Power – Uganda.
Ono agamba nti alabye erinnya lye n’abantu abalala batakiriza nti ddala bava Karamoja nga balondeddwa. Ono agamba nti ajja kuvaayo ayogere bwanaaba afunye obudde, naye nga agamba nti bwatunuulidde olukalala luno akizudde nti Bannakisinde kya People Power Our Powerr balonze buli omu eyawakanya ‘Age limit’ so nga si kituufu ku bamu ku bbo.
Ono agamba nti wadde nga alina eddembe okubeera mu kibiina kyonna, wabula alina eddembe kukusalawo ku mbeera eyinza okumulemesa okukola emirimu gye ng’omubaka okuva mu kibiina kya NRM. Ayongerako nti asaba okumanya ddala People power eyimiriddewo ku lwaki, kibaagala akole, akikola atya, n’engeri gyekiyinza okuyambamu abantu be bakiikirira. Ebyo bwebinabalema agamba nti tajja kukiriza kubegattako.