Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 202 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

aba people power bateereddwa

January 9, 2019 · Mubiru Ali

Bannakisinde kya Poeple Power abakwatibwa wiiki nga bbiri eziyise enkya yaleero bateereddwa Kkooti ya Law Development Center ku bigambibwa nti omusango ogubavunaanibwa ogwokusaasanya amawulire ag’obulimba gwasimuulwa dda mu bitabo by’amateeka emyaka 15 egiyise.
Kigambibwa nti Moses Bigirwa, bwe yali ku Pulogulaamu ya Leediyo emu yategeeza nga Gavumenti ya NRM bweyalina olukwe okutta omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine mu kalulu akaali mu Arua omwaka oguwedde.
Omulamuzi w’eddaala erisooka Roselyn Nenge avuddeyo nanenya oludda oluwaabi wamu n’omuwawabirwa olwobutavaayo kulaga kkooti nti omusango oguvunaanibwa Bigirwa gwagibwa mu bitabo by’amateeka emyaka 15 egiyise. Era bwatyo nalagira omusibe ateebwe okujjako nga waliwo omusango omulala oguli mu mateeka ogumuvunaanibwa.