Breaking
News: Emyaka 33 emabega ku lusozi Nnagalabi Buddo, Kabaka wa Buganda owa 36, Maasomoogi Ronald Muwenda Mutebi II yatuula ku Nnamulondo, eno yensonga News: Ha ha haaa………Kisembedde! Nga bwokirinda ddamu kino News: Ssanyu Jjereere! Obuganda busagambiza
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 250 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Aba Our Lady of Carmel Busuubizi bajaguzza emyaka 125

November 17, 2024 · Mubiru Ali
Omuyuuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Rtd. Maj Jessica Alupo avuddeyo nasiima Abakatuliki olwokulafubana ennyo okulaba nti batumbula enkola za Gavumenti ezenjawulo ezigenderera okugoba obwavu mu bantu.
Alupo okwogera bino abadde Mityana aba Our Lady of Carmel Busuubizi Catholic Parish esangibwa mu Kiyinda – Mityana Diocese kwebajaguliza okuweza emyaka 125 okuva lweyatandikibwawo.
Alupo yasabye Abakulu b’eddiini okuvaayo bakwataganire wamu ne Gavumenti okulaba nti bakunga Bannayuganda okuvaayo bwalwanyise obwavu nga bassa mu nkola enkola ya Parish Development Model (PDM), wamu n’Emyooga.
Ku mukolo gwegumu ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga Judith Nabakooba yavuddeyo najjukiza Abakulira amaddiini okuvaayo bagobe byappa by’ettaka ly’Ekereziya n’Ekkanisa eryabaweebwa abazirakisa nga kati baava mu bulamu bwensi.
Yategeezezza nti ettaka lyekika kino livuddeko nnyo enkayaana okuva mu b’Eŋŋanda z’abantu abo abawaayo ettaka. Ono era yabasabye okubaako byebalikolerako okwewala abantu abayinza okulinyaga.
#ffemmwemmweffe