Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 501 listening Simba FM Live

Aba Opposition eby’okuba obuseppiti bya kisiru – Kusaasira

June 22, 2020 · Mubiru Ali

Catherine Kusasira avuddeyo nanenya Uganda Police Force ku ngeri gyeyakwatamu Bucha Man eyali akulembeddemu abavubuka abalina emiggo n’ejjambiya okulemesa Poliisi okugoba abantu mu ntobazi. Ayagala Ssaabadduumizi wa Poliisi Martins Okoth Ochora akwatte era akangavule basajja be abakwaata Buchaman nebamukunguza okutuuka ku Poliisi gyebuvuddeko.
Ono alumbye n’aboludda oluvuganya Gavumenti abavaayo n’ekola yokukuba obuseppiti bano nga bakulemberwamu Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine owa People Power – Uganda, Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye owa Forum for Democratic Change ne The Peoples Government – PG, Omubaka wa Mukono Municipality Mp Nambooze Bakireke Betty. Catherine Kusasira Sserugga agamba nti kino kyakisiru bagende bakole. Ono agamba nti abasuubira emmere okuva mu Gavumenti zibasanze kuba tejja kuwa buli omu.