Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 695 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Aba Opposition bayagala okubba obululu e Kayunga – Ssaabaminisita

December 21, 2021 · Mubiru Ali
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja avuddeyo nalumiriza ab’oludda oluvuganya okutaataganya okuddamu okulonda Ssentebe mu Disitulikiti y’e Kayunga okugezaako okuwangula akalulu.
Ssaabaminisita Nabbanja yategeezezza abantu b’e Masindi nti ab’oludda oluvuganya Gavumenti batiisatiisa abalonzi ssaako okuteeka obululu obumaze okulondebwa mu bbokisi e Kayunga nti wabula era National Resistance Movement – NRM yabawangulirayo olwobuwagizi bwerina mu bantu b’e Kayunga.
Ono agamba nti abo bonna abamunenya okugenda okunoonya akululu e Kayunga banoonye kusaasirwa Bannayuganda.
Ayongerako nti abantu basaanye okuwa Gavumenti ekitiibwa wamu n’akakiiko k’ebyokulonda nategeeza nti singa baali babbye obululu lwaki gwebawangula owa National Unity Platform bamusingako obululu 450 bwokka!