Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 462 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Aba Opposition banimbisa nti Gavumenti yantulugunya – Ssimbwa

January 26, 2024 · Mubiru Ali
Moses Ssimbwa avuddeyo nalumiriza aba Opposition okumulimbalimba nti bamutwala mu Ddwaliro e Nairobi okufuna obuyambi wamu n’okumusuubiza ebintu ebiwerako byebatamuwa.
Ono agamba nti bwebamutuusa e Nairobi gyeyakizuulira nti baali bamututte mu lukungaana era nti nebamugamba ayogere nti yali atulugunyiziddwa Gavumenti.
Wabula Munnamawulire Ronald Muhinda ku mukutu gwe ogwa X (Twitter) nga 27-November-2022 yavaayo okwanukula @Faruk Kirunda ngono yamyuuka Munnamawulire wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni byayali awandiise nga agamba nti Ssimbwa yafuna akabenje ku luguudo lwa Jinja Road era buli omu akimanyi, nategeeza nti Ssimbwa yali mulwanirizi w’ekibiina kya Forum for Democratic Change nti era yatomerwa motoka ya Poliisi mu bugenderevu, nti era Ssimbwa tasobola kwogera ku ssente obukadde 14 obwasasulwa okumujanjaba. Muhinda yebuuza abawagizi ba NRM kyebanywa!
Abaffe ani asiga obulimba ku bonna?!