Aba NUP basiiga bitongole byabyakwerinda nziro – CP Enanga

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo ku katambi n’ebifaananyi eby’agambibwa okubeera omuwagizi wa Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine eyatulugunyizibwa; “Twagala okutegeeza Bannayuganda ku bifaananyi ebitambuzibwa ebya omuntu ategeerekese nti ye Ronald Ssegawa nga biraga ebitundu by’omubiri eby’enjawulo ebiriko obuvune wamu n’omukono ogwamenyese, bagamba nti Ssegawa yatulugunyizibwa bitongole byabyakwerinda ekitali kituufu nga begenderera kwonoona linnya era nga biteekeddwa Ssenta aboludda oluvuganya ne ba blogger baabwe bebawa ssente.
Tutandise omulimu gwokunoonyereza kubyokutulugunya era nga tuzudde nti ekifaananyi ky’omukono ogwamenyese gwebagamba nti ggwa Ssegawa, kizuuliddwa nti ekifaananyi ekyo kya muwala Nelima Sandra ow’e Mooni ward, Industrial Division, Mbale City, eyaggwa ku jjinja nga 27/01/2021, nga kyagiddwa mu Mbale Regional Referral Hospital, nebakikyuusakyuusa okusiiga ettoomi ebitongole byebyokwerinda.
Kibi nnyo nti abamawulire balimbiddwa aba National Unity Platform-NUP abalina omutima ogwekko okuli ne Pulezidenti w’ekibiina eyakakasizza nti omukono omumenya ggwa muwagizi we Ssegawa.
Ssegawa emikono gye gikwekeddwa mu ngeri entegeke okusobola okutuukiriza ekigendererwa kyabwe.
Mu ngeri yemu Poliisi yaffe ey’e Kabalagala etandise okunoonyereza ku baali bagezaako okubbira ku booda booda e Kansanga – Makindye nga abagiriko bakwatobwa nebakubwa abantu bwebaali bagezaako okusikambula akasawo ku mukazi. Okunoonyereza kuno kwakuyamba okuzuula oba nga Ssegawa yatulugunyizibwa obwa yakubwa nga agezaako okubba.”
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply