Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 593 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Aba NRM mu Kampala batabukidde Minisita Kyofatogabye

September 26, 2023 · Mubiru Ali

Wabaluseewo obutakkaannya wakati wa w’Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala Christopher Kabuye Kyofatogabye ne Bannakibiina ki National Resistance Movement – NRM mu Kibuga ng’entabwe evudde ku Minisita Kyofatogabye okulumiriza Nnankulu w’ekitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA Dorothy Kisaka okubeera emabega wa vvulugu yenna eyetobese mu Kibuga Kampala.
Bannakibiina bagugumbudde Kyofatogabye olw’okudda ku mukulembeze munne namulima empindi ku mabega mukifo ky’okukolera awamu okuzimba ekibuga.
Bano kubaddeko Ssentebe wa NRM e Kawempe Godfrey Luwaga ne Ssentebe wa NRM e Lubaga Abdallah Kitatta.