Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 569 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Aba NRM e Masaka bakubye abategese Olukiiko

January 6, 2021 · Mubiru Ali
Abavubuka abakungaanyiziddwa nga Bannakibiina kya

National Resistance Movement – NRM nga babadde balina okubeera mu zoom meeting ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni

e Masaka bavudde mu mbeera ng’olukiiko luwedde nebamenya obutebe nga bagamba nti abategesi babefuulidde nebabawa ssente ntono kwezo zebabagambye nga babakungaanya.

Bano bagamba nti bakiriziganyizza okubawa emitwalo esatu nebabawa mutwalo gumu. Bano bayuzizza T-shirt za Pulezidenti ezabaweereddwa nebategeeza nga bwebavudde mu NRM. Bbo ababadde mu Masaka Liberation Square bagamba babagambye bagenda kubawa mitwalo 15 oluvannyma nebabawa esatu. Abategesi okuli Gerald Ddundu Tabula ne Rogers Bulegyeya bataasiddwa bakannyama abakuuma omubeezi wa Minisita owabaana nabavubuka Florence Nakiwala Kiyingi.