Aba NRM basuze bulindaala ku kkomo ly’emyaka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ababaka mu Palamenti ab’ekibiina kya  NRM bakkiriziganyizza wamu kitole nebakkiriza Omubaka Raphael Magyezi okuleeta mu Palamenti ekiteeso ku bbago ly’etteeka erijjawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Olukiiko olw’etabiddwamu ababaka b’ekibiina kya NRM 296, lubaddemu ebiteeso bibiri, ekya Raphael Magyezi okuleeta ebbago lino ery’ekkomo ly’emyaka mu Palamenti ate n’ekya Patrick Nsamba Oshabe, omubaka akiikirira Kassanda ey’amaserengeta ekya Gavumenti okuteekawo akakiiko akeetongodde ku ssemateeka kakole okwekenneenya ku biki ebyetaagisa okukulamu ennongosereza mu ssemateeka yenna

Mu lukiiko luno olututte essaawa ennya, abakaka 287 bawagidde ekya Omubaka Magyezi ate omusanvu nebakiwakanya songa ababiri bagaanye okulaga webagwa so ate abana bawagidde ekya Patrick Nsamba Oshabe.

 

Share.

Leave A Reply