Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 818 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Aba NRM baleese TUTEREEZE mu kawaayiro 102(b)

August 21, 2017 · Mubiru Ali

Waliwo ekibinja ky’abawagizi ba NRM abavuddeyo n’enteekateeka eya Tutereeze mu kawaayiro aka 102 (b)  mu Ssemateeka w’eggwanga akaluubirira okuggyawo ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga.

Ekibinja  kino nga kikulembeddwamu ssaabakunzi mu Kibiina kya NRM Faridah Mayanja,  era nga bakungaanidde ku ssomero lya Nakivubo Blue mu kibuga Kampala,  bagamba nti Pulezidenti Museveni agende mu maaso n’okukulembera eggwanga kubanga alifuze bulungi.

Enteekateeka eno ejjidde mu kiseera nga ab’ekibiina kya DP baavaayo n’enteekateeka gyebaatuuma K’ogikwatako nga basimbira ekkuuli eky’ennongoosereza mu bbago lino.