Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 519 listening Simba FM Live

Aba NRM abawangulwa batandise okutwala okwemulugunya kwabwe

September 8, 2020 · Mubiru Ali

Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM batandise okuvaayo okwemulugunya ku mivuyo egyetobese mu kamyuufu k’ekibiina mu bitundu eby’enjawulo ekyaviiriddeko nabamu okuluguluma obulamu.

Abavuddeyo kuli Lydia Wanyoto eyabadde avuganya ne Connie Galiwango Nakayenze ku kifo ky’omubaka omukyala ow’ekibuga Mbale nga nakati omuwanguzi tanalangirirwa. Ono agamba nti asazeewo okusula ku kitebe ky’ekibiina eky’ebyokulonda okutuusa nga bamubuulidde ekituufu lwaki tebanalangirira muwanguzi.

Ye Omubaka Muyanja Mbabaali naye agamba nti obubbi obwali mu kamyuufu ka Bukoto South tabulabangako so nga ne muganda w’omugenzi Cerenah Nebanda, nga e Florence Nebanda naye aleese okwemulugunya kwe okuva e Bulateka.