Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 257 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Aba Munisipaali y’e Mbarara baggudde olutalo ku mbwa, basse 80

February 23, 2017 · Mubiru Ali

Ekyasaliddwawo abakulira Munisipaali y’e Mbarara okuwa embwa ezisoba mu 80 obutwa kinyiizizza nnyo bannannyini zo nga bakukkulumira abatwala Munisipaali eno olw’obutabatemyako nga bagenda okuteeka kino mu nkola .

Ku lwokubiri lwa ssabbiiti eno , abakulira Munisipaali eno baawa embwa ezisoba mu 80 obutwa lwakutaayaayiza mu kibuga wamu ne mu bifo awakungaanyizibwa kasasiro. Kino kigenze okubaawo nga aboobuyinza mu bbanga lya myezi ebiri eriyise basse embwa 70 mu Divisoni y’e Kamukuzi.

Jackson Kabagambe nga mutuuze ku kyalo Katete afiiriddwa embwa ze bbiri agamba nti aba Munisipaali baalibadde beefunyirira ku kukungaanya kasasiro mu kifo ky’okutta embwa.

ย Ate Juliet Mugisha nga naye yafiiriddwa embwa agamba nti embwa zikozesebwa nga eby’okwerinda ebisookerwako nga zaalibadde tezittibwa .

Wabula ye Omusawo w’ebisolo mu Disitulikit y’e Mbarara, Dr. Mwebembezi agamba nti eky’okuwa embwa obutwa kikyagenda mu maaso.