Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 201 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Aba FDC bagaaniddwa okuva olukungaana e Buikwe

May 7, 2019 · Mubiru Ali

Abawagizi ba FDC e Buikwe bezoobye n’amaggye ne Poliisi oluvannyuma lwa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye okutuuka mu Disitulikiti eno okusisinkana abakulembeze ba Forum for Democratic Change. Bagenze okutuuka mu kifo webabadde balina okutuula basanze Poliisi n’amaggye bebulungudde ekifo kyonna.
Bano babadde bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina kino Patrick Oboi Amuriat.
Pulezidenti Museveni naye asuubirwa okugenda mu Disitulikiti y’e Jinja n’e Buikwe olwaleero okuggulawo amakolero 10.