Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 315 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Aba FDC baatubbye akalulu – Kasule Lumumba

March 16, 2018 · Mubiru Ali

Ab'ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM) bawakanyizza obuwanguzi bwa munna FDC Paul Mwiru mu  kalulu ka Jinja East akaalangiriddwa akakiiko k'ebyokulonda akawungeezi akayise. 

Ebyalangiriddwa akakiiko k'ebyokolunda byoleka nti Paul Mwiru yafunye obululu kakaaga mu lukaaga mu ataano mu buna (6654) ate Nabeta owa NRM n'afuna enkumi ttaano mu ana mu busatu (5043). 

Ssaabawandiidi w'ekibiina kya NRM, Justine Kasule Lumumba asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire e Jinja  mu ttuntu lya leero n'ategeeza nti okulonda kwa jjo kwetobeseemu emivuyo mingi omuli okubba akalulu, abantu okulonda emirundi egisoba mu gumu nga mw'otwalidde n'okutiisatiisa abalonzi. 

Lumumba agamba nti bamaze okulagira bannamateeka b'ekibiina okukunganya obujulizi balabe eky'okukola.