Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 793 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Aba DP bawakanya Pulezidenti Museveni ku kya ba “Crime Preventers”

April 3, 2018 · Mubiru Ali

Ab’ekibiina kya Democratic Party bagamba nti bawakanya ne ssekuwakanya yenna era tebakkiriziganya na kyasaliddwawo Pulezidenti Museveni eky’okufuula ba “Crime Preventers” ekitundu ku magye nti kiyinza okuttattana ekifaananyi ky’eggye ly’eggwanga.ย 

Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni ssabbiiti ewedde okuvaayo mu lwatu n’alangirira nga ba Crime Preventers bwebali obutereevu mu nteekateeka ye so ssi ya Kayihura era n’akakasa nga bw’agenda okubafuula eggye ezzibizi.

Kenneth Kakande omwogezi w’ekibiina kya DP bw’abadde ayogera mu lukungaana lwa Bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina ku City House mu Kampala, agambye nti ssemateeka akirambika bulungi ku nsonga y’amaggye n’ennyingiza y’abantu .