Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 348 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

aba dp bagamba waliwo embiranye wakati wa fdc ne people power

March 6, 2019 · Mubiru Ali

Ekibiina kya Democratic Party Uganda kikkirizza nti waliwo obutakkaanya wakati wa Forum for Democratic Change ne People Power Our Power nga kati kyeyamye okutabaganya enjuyi zombi. DP egamba egenda kutuuza Col. Dr. Kizza Besigye ne Bobi Wine balabe bwebamalawo akaleegabikya akalabise nga kasituse mu bawagizi baabwe.
Era mu ngeri y’emu abamu ku bakulembeze ku ludda oluvuganya basabye ekibiina kya FDC kyesonyiwe eby’okunoonyereza ku bavubuka abaalumba Dr Kizza Besigye e Bulange. Bino byogeddwa omubaka Betty Nambooze Bakireke ne Dr. Abed Bwanika.