Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 687 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Aba Bodaboda bonna beewandiise – Kayihura

April 24, 2017 · Mubiru Ali

Aduumira Police mu ggwanga General Kale Kayihura agamba nti kyetaagisa  abagoba ba Bodaboda bonna mu kibuga Kampala n’ebitundu ebirala beewandiise.

Ate n’abalala bonna abatalina ssiteegi kwebakolera baamuke ekibuga bagende mu bifo ebirala kubaga anaakwatibwako kaggya kumujjuutuka era y’anaakinyumiza abalala.

Kayihura eyabadde alambula ssiteegi eza Bodaboda ez’enjawulo mu  kibuga Kampala akawungeezi ka ggyo, yagambye nti ensonga eno bagikwasizza maanyi olwokugoba obumenyi bwamateeka obugenze bwefuga ebitundu ebyenjawulo eby’eggwanga.

Aba Bodaboda abatalina Ssiteegi ba Lubyanza tetujja ku bakkiriza, buli mugoba wa Bodaboda abeere ne ssiteegi. Abatalina bagende ewalala. Abatemu, ababbi bayitira awo”. Ssaabapoliisi Kayihura .