Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 324 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Aba Bank of Uganda beyimiriddwa

June 25, 2019 · Mubiru Ali

Kkooti evunaana abakenuzi n’abali b’enguzi ekirizza abakozi ba Bbanka enkulu eya Yuganda okweyimirirwa. Bano kuliko Francis Kakeeto 36, nga Branch Manager of Bank of Uganda – Mbale Branch, Fred Vito Wanyama 42, Assistant Branch Manager ne Charles Malinga nga akola nga Director of Currency Department Charles Malinga.

Omulamuzi w’eddaala erisooka Abert Asiimwe alagidde Malinga okuwaayo omusingo gwa bukadde 40 mu mpeke, Kakeeto obukadde 30 ne Wannyama obukadde 25.

Era balagiddwa okuwaayo ebyapa by’ettaka lyabwe ate bbo ababeyimiridde basabiddwa okuwaayo omusingo gwa bukadde 200 ne 100 obutali bwabuliwo era nga balina obuvunaanyizibwa okulaba nti bazza abantu bano mu kkooti era balagiddwa okuwaayo Ppaasipooti zaabwe era nebalabulwa obutatataganya kunoonyereza.