Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 175 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

90 basuuliddwa mukwewandiisa ku bwa LDU

October 15, 2018 · Mubiru Ali
Col. Ronald Bigirwa akulira okuwandiisa abantu abaagala okweyingira obwa LDU mu West Nile agamba nti Abavubuka mu bitundu bino tebefaako kwejjanjaba ndwadde omuli ezireetebwa okunywa ebiragalalagala nga sigala, enjaga n’omwengwe, nti era bakizudde nga abasinga kubo ebibumba n’amawuggwe birwadde kyokka nga bakyali mu myaka mito.
“Oluvanyuma lw’okwekebejja abavubuka bano tukizudde nga abasinga ku bbo balwadde, ate ekisinze okutwewunyisa abali mu myaka gy’etubadde twagalira ddala bebalwadde, ate abaliko mu myaka emikulu bbo balamu bulungi, kale kino kituzizzaamu emabega katono.” Col. Bigirwa.
Yagambye nti abamu babasanze balina akawuka ka kiryatabaala, abalala nga balina enkovu nnyingi ku mibiri gyabwe, songa n’abandi tebakyalina mmanyo mu kamwa.
Yasabye abazadde okw’ekubiriza okutwala abaana mu malwaliro bagemebwe nga bakyali bato nti ne bwe baba bakuze bagemesebwe obulwadde bwa Hepatitis B nti kubanga bakizudde nti mu Disitulikiti omuli, Yumbe,Adjumani, Arua, Koboko, Maracha, Moyo, Nebbi, ne Zombo babusanzeeyo nga bungi ddala.
Wabula oluvanyuma basobodde okuwandiisayo abawera 140 abatwaliddwa okutendekebwa.