Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 420 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

82,000 eza ddoola zizaalidde abaserikale ba Interpol leenya

October 20, 2017 · Mubiru Ali

Police eriko abaserikale baayo babiri beegombyemu obwala nga bali mu kitongole kya Interpol okuli ; Inspector Bukholi Edison ne Inspector Musasa Chris nga bateerezebwa okuggya emitwalo munaana mu enkumi bbiri eza America ( 82,000USD) ku musawo munnayuganda ku kifuba – Senior Surgeon akolera e Namibia.

Nti bamulanga okukukusa ssente nga y'aliba ng'akolagana ne Dr. Aggrey Kiyingi  ali mu Australlia okuwagira ebikolwa ebireeta obutabanguko mu ggwanga. 

Ssente zino baazimuggyirako Mutukula ku nsalo ya Yuganda ne Tanzania ng'ayingira Yuganda.