Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,357 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

6 beyimirira Omusinga Mumbere

January 12, 2017 · Mubiru Ali

Omusinga w’obusinga bwa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere aleese abantu mukaaga okumweyimirira nga bataako ku bo babaka mu Palamenti abava e Kasese, bano bakuliddwako Winnifred Kiiza akulira abooludda oluvuganyaya Gavumenti, ate n’eyali Ssabaminisita we Constatine Bwambale.

Mu babaka bano mulimu; Robert Centenary owa Municipaali y’e Kasese, Tonny Muhindo owa Bukonzo East ,William Nzoghu owa Busongora North ne Atikins Katusabe owa Bukonzo West .

Abweyimirira bano balina obuvunaanyizibwa obw’okulaba nti Mumbere alabika eri buli lwekyetaagisa.

Wabula ekibinja abawolereza ba Gavumenti abakiikiridde Ssaabawaabi wa Gavumenti nga  bakuliddwamu Alex Ojok ategeezezza kkooti, nti bafunye ebiragiro okuwakanya okweyimirirwa kwa Mumbere nti kubanga muntu was mugaso nnyo mu kitundu kye nga ayinza okutaataaganya okunoonyereza.