Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 330 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

5 bafiiridde mu nnyanja Nalubaale – Kalangala

June 6, 2017 · Mubiru Ali

Abantu bataano bafiiridde mu nnyanja Nalubaale oluvannyuma lw’eryato mwebabadde basaabalira eribadde liva e Kasekulo nga lidda mu mwalo gw’e Kamese mu ggombolola y’e Kacanga mu Kalangala okubbira. 

Ayogerera Police mu Bendobendo lya Masaka Lameck Kigozi,  agamba nti eryato lino libaddeko abantu musanvu ate nga litisse nnyo, likubiddwa omuyaga neribbira era okukkakkana nga abantu babiri bebasobodde okusimattuka amagombe ate abataano nebakkirira ewa Ssenkaaba nga mu bano mulimu Dallas  Bwete, Ssenabulya, Ssemugera Charles, Keeya ne Buyita nga bonna babadde batuuze booku kyalo Kamese mu ggombolola y’e Kacanga mu Disitulikiti y’e Kalangala.