Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 246 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

November 4, 2018 · Mubiru Ali

Omulabirizi wa West Buganda Dioceses Bishop Henry Katumba Tamale atabukidde abakulisitaayo abasusse okumenya amateeka nga bwe gaalambikibwa nga batandise n’okussaako abaana abato abatannaweza myaka 12 emikono kyagambye nti kinafuya ekkanisa nga bano banditwalibwa omuyaga gw’eddiini endala kuba tebabitegeera.
Ono okwogera bino abadde assaako abaana 87 emikono omuli n’omugole, Ku kkanisa ya St. James e Mbiriizi mu Lwengo.
Bishop ayongeddeko nti abantu basusse ebikolwa ebyekko, obufere, okusiiwuuka empisa n’obukyaafu mu bantu abakulu ng’abasinga balemererwa n’okunaaba kyagambye nti kiswaza Obuganda.