Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka, News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 190 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

4 abateeberezebwa okunyakula emmundu ku baserikale bakubiddwa amasasi .

March 11, 2016 · Mubiru Ali

Abantu 4 battiddwa mu kabuga k’ e Kasenyi mu ggobolola ye Buhubira abateeberezewa okuba na babadde bagezaaako okunyakula emmundu ku baserikale .

Aduumira Police mu bitundu bya Rwenzori Bob Kagarura agamba nti bano abana baakubiddwa abaserikale ba police mu ngeri y’okwetaasa . Ekibinja ky’abasajja bano kigambibwa nti kyalumbye  nga babagalidde emyambe n’amajambiya era nekinyakula emmundu ku omu ku baserike era nebamuleka nga anyiga biwundu, ategeerekeeko lya Thembo .

Alipoota ezaasoose ziraga nti abattiddwa bakuumi ba Obusinga bwa Rwenzururu abakuuma ebifo by’obusinga mu bitundu by’e Kasese .

Wabula ayogerera Obusinga bwa Rwenzururu Joshua Baluku avuddeyo n’akakasa nti abattiddwa bakuumi b’Obusinga  era okunoonyereza kwakutandikirawo okumanya kino kwekyavudde .