Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 391 listening Simba FM Live

Prof. Baryamureeba ayimiriziddwa Council ya Makerere University Business School

June 13, 2018 · Mubiru Ali

Makerere University School Council esabye Ssentebe waayo asooke addeko ebbali okumala emyezi esatu nga bwebakola okunoonyereza ku bigambibwa nti enkolagana ye ne Prof. Wasswa Balunywa nga ye Principal erumira.

Olukiiko olwatudde eggulo nga lwakubiriziddwa Rev. Sam Luboga nga lwabaddemu abantu 24 era nga bonna basaliddewo wamu awatali kwetemamu nti Prof. Baryamureeba asooke adde ebbali bamale okukola okunoonyereza.

‘Committee’ y’abantu bataano yeyalondeddwa okukola okunoonyereza kuno nga kuliko Rev Luboga nga Ssentebe, Dr Isaac Ngobya, Dr Shifra Lukwago, ne Mr Ntende (guild president) baveeyo ne alipoota ku biki ebivaako obukuubagano wakati w’abakulu ababiri.