Jim Muhwezi addukidde mu kkooti enkulu ku by’ettaka

Eyali Minisita avunaanyizibwa ku by’obyobulamu Rt. Maj. General Jim Muhwezi addukidde mu kkooti enkulu olw’ekiragiro kya kkooti ekya wiiki ewedde kyeyafulumya nga emugaana okuddamu okusaalimbira ku ttaka erisangibwa e Kyamula – Salaama ku Kyaddondo Block 273 mu Divizoni y’e Makindye. 

Muhwezi ng’ayiya mu munnamateeka we Ahmed Mukasa Kalule agamba nti ye nannyini ttaka eryo omutuufu era nga yaligula ku William Hitman mu 1995 era ebbanga lyonna eriyise emyaka 23  abadde ali ku ttaka lino nga tewali mberebezi yonna  okuggyako jjo lya balamu wano wiiki ewedde ba Wannyondo ba kkooti lwebaabadde bamugobako ku biragiro bya James Mubiru.

Mubiru yayita mu kkooti eyingire mu nsonga zino ng’agamba Maj. General  Muhwezi ettaka lino yalifuna mu bukyamu  era limu ku ttaka lya kitaawe omugenzi omugenzi George Ssekajjugo era ye nga omwana w’omugenzi y’avunaanyizibwa ku ttaka lino.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ambulance esse owa boda boda e Mbale