Breaking
News: Tamale Aloysius aka Young Mulo ne munne Mugisha JohnBosco baweereddwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 150 lwakutta bavuzi ba booda booda nokubba News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 317 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

33 abakwatibwa mu curfew baweereddwa ekibonerezo

August 5, 2021 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Fedelis Otwao asalidde abantu 33 ekibonerezo kyakusasula engasi ya mitwalo 2 buli omu oba okumala ebbanga lya wiiki emu mu mbuzekogga lwakumenya kiragiro kya budde bwa curfew.
Bano ababadde basomerwa emisango ku zoomu bakirizza nti ddala omusango baguzza era omulamuzi nabavunaana kuzimuula biragiro biri mu mateeka.
Wabula bano babadde basabye omulamuzi aleme kubawa kibonerezo wabula abalabule obutaddamu kumenya biragiro kuba gwemulundi gwabwe ogusoose okuzza omusango.