Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 425 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

3 bafu, 8 bapookya lwa kabenje – Tirinyi

March 20, 2017 · Mubiru Ali

Abantu basatu bafiiriddewo mbulaga ate abalala munaana nebaddusibwa mu ddwaliro nga emagombe banaasimbayo kitooke mu kabenje akaguddewe enkya ya leero luguudo okuva e Mbale okudda e Tirinyi.

Omusasi waffe Willy Basoga Kadaama eruuyi eyo  agamba nti akabenje kano kaguddewo oluvannyuma lwa takisi ebadde eva e Mbale okwambalagana n’eya Noah ebadde eva e Iganga okwolekera  Mbale.

OC Traffic lwa Disitulikiti y’e Numutumba, Maghoma Steven agamba nti Takisi kigege ebadde egezaako okuyisa n’etomeregana ne Noah ate oluvannyuma n’etomera omuti.