Breaking
News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 436 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

3 bafiiriddewo mbulaga, 10 bapookya – Kabenje e Kamuli

September 5, 2017 · Mubiru Ali

Abantu basatu bafiiriddewo mbulaga n’abalala kkumi nebaddusibwa mu ddwaliro nga bapookya na biwundu oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje ka takisi mu Disitulikiti y’e Kamuli.

Omusasi waffe Solomon Baleke obuuyi obwo atutegeezezza nti akabenje kano kagudde kumpi n’ekibuga ky’e Kamuli nga kavudde ku kimotoka ky’ebikajjo ekiyingiridde takisi ebaddemu abantu bano.

Ye Meeya wa Munisipaali y’e Kamuli, David Musasizi agamba nti akabenje kano kavudde ku kimotoka kya bikajjo era n’asaba Gavumenti okussawo enkola esobozesa emmotoka z’ebikajjo okutambula obudde bw’emisana bwokka.