Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 135 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

June 27, 2016 · Mubiru Ali

Kooti enkulu e Masaka  olwaleero egobye okusaba okwateekebwayo nga kuwakanya obuwanguzi bw’ababaka mu Palamenti basatu omuli ne Ssekikubo akiikirira Lwemiyaga mu Ssembabule .

Omulamuzi Lawrence Gidudu agubadde mu mitambo agobye okusaba kwa Patrick Nkalubo eyavuganya Ssekiukubo okuddamu okubala akalulu . Omulamuzi agambye nti tekisoboka kuddamu kubala kalulu kubanga Nkalubo okusabakwe yakussaayo kikeererezi nga ennaku ez’essalira ziweddeyo .

Ssekibubo abadde omusanyufu ennyo oluvannyuma lw’omulamuzi okuwa ensala ye , ategeezezza bannamawulire nti buno obuwanguzi bwa bantu be Lwemiyaga