Omubaka omulonde owa Arua Municipality Kassiano Wadri n’ababaka abalala n’abantu abalala basomeddwa omusango mu kkooti e Gulu ogw’okulya mu nsi yaabwe olukwe nga bagezaako okulumya omukulembeze w’eggwanga nga bakuba emotoka ye amayinja.

🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Poliisi mu Kampala ekutte abantu 7 okuli; Mohammed Tarigenda, Dickson Asaba, Nulu Isabirye, Ronald Nkwanga, Joan Nakato, Rashim Nakanwagi ne Badru Mutumba nga bano babadde benyigira mukukuba National ID, ebiwandiiko wamu ne Driving Permit ez’ebiccupuli ku Nasser Road ku kizimbe kya Miracle House.
Kigambibwa nti bano byebadde bakola babadde babiguza Bannansi wamu n’abo abatali Bannansi.
Bano bakwatiddwa Omusirikale wa Poliisi eyefudde omuntu wabulijjo abadde yetaaga okumukolera ekyapa ky’ettaka eky’ekiccupuli. Kigambibwa nti ono yamusabye akakadde kamu mu emitwalo abiri 1.2M. Bweyabuzizza ku National ID bamugambye nti yetaaga emitwalo 120,000/= ne 130,000/=.
Poliisi egamba nti ekutte ebyuuma byebabadde bakozesa okukola ebiwandiiko, seal z’ebitongole bya Gavumenti ebyenjawulo. Kigambibwa nti ku National ID babadde bakozesa NIN numbers ezawebwa edda abantu, endala nga teziriiyo.

🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
badde teriwandiikiddwako Kassiano Wadri oba Kyagulanyi.🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omubaka Allan Ssewanyana agamba nti basisinkanye omudumiizi w’ekibinja eky’okuna eky’amaggye Brig. Kanyesigye nga Ababaka ba Palamenti abasindikiddwa wabula tabawadde lukusa kwogerako na Hon. Kyagulanyi ne Hon. Zaake. Agamba nti abagambye e Kkooti y’amaggye egenda kutuula e Gulu akadde konna olwaleero mu nsonga ya Kyagulanyi ate ye Zaake akyali mu ddwaliro. Ate bbo ababaka okuli Karuhanga, Mwiru ne Wadiri bali mu kkooti ewulira emisango gyabwe.

🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Luigi Candia nannyini wooteri Pacific esangibwa mu Arua nga muno omubaka Kyagulanyi wamu n’abantu be mwebakwatiddwa ku Monday olw’eggulo avuddeyo nawakanya Poliisi byegamba nti yasanze emmundu mu kisenge omubaka mwabadde asula.
Luigi agamba nti bino byonna bifu nnyo era ab’ebitongole ebyebyokwerinda bayagadde ku bikirira okwonoona ebintu bye wamu n’obubbi bwebakoze nga bafuuze kisenge ku kisenge.
Agamba nti amaggye gakubye abakozi be, bamenye enzigi, ebibajje wamu n’okubba ensimbi za ba Kasitoma be ezisoba mubukadde 80.
Ono agamba nti akyawandiika ebyayononeddwa abamaggye okuva akawungeezi ka bbalaza okutuuka ku lw’okubiri mu ttuntu.

🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Obubbi bw’ente bukudde ejjembe mu Mukono era ng’ente eziwerera daala amakumi asatu (30) zezakabibwa mu gombolola ye Nama mu Muluka gw’e Mpooma mu district y’e Mukono Ku kyalo Nkokki.

🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Jose Chameleon avuddeyo nawandiikira President Museveni ebbaluwa nga amusaba asonyiwe Kyagulanyi Ssentamu Robert (Bobi Wine) era agambye bwati;
Ebbaluwa eri His Excellency Pulesidenti w’Eggwanga Uganda;
Ssebo Pulezidenti,
Okusaba okusisinkana oba okuwandiika ebbaluwa yange eyite mitendera emituufu tejja kutuukako mu budde. Mukaseera kano nsuubira ffenna tosobola okukitwala nti wabaddewo akabenje ku kyabaddewo mu Arua ku bbalaza, wabula kalese emotoka yo nga eyononeddwa wamu n’okutibbwa kw’omuntu omu era nga bangi kuffe kyatulese kituyisizza bubi.
Ne Munnayuganda, muganda wange, mukwano ggwange, muyimbi munange ate nga Mubaka wa Palamenti akiikirira abantu b’e Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu – Bobi Wine ne banne abalala bangi nga bali mu mbeera eteyagaza.
Hon. Kyagulanyi emirundi mingi tukolaganye okulaba nti tulwanyisa ennyimba engwira okwefuga Uganda wamu n’okulaba nti tutunda obuwangwa bwaffe ebweru w’Eggwanga nga tuyita mukuyimba.
Nzikiriza nti ayiseewo nnyo mukwoleka obwagazi bw’okulembera, naye nga omuvubuka yenna alina ekirubirirwa akozesezza obuvumu obusukiridde okusobola okukituukiriza.
Ssebo Omukulembeze w’eggwanga, Muganda waffe, Mutabani wo, Muzzukulu wo Bobi Wine yandiba nga yakozesezza ebikolwa ebikyamu okutuukiriza ebiruubirirwa bye n’endowooza ye, kuno kusomooza kw’amaanyi. Wabula ggwe ng’Omukulembeze w’eggwanga era Kitaffe, kiba kyakulabirako kirungi bw’osonyiwa n’ozza Bobi Wine. Tukirabye emirundi mingi nti okusonyiwa n’okutabagana bwebuzibu obusinze okuzza Uganda emabega. Tukirizze nti ffenna Bannayuganda tetwagala kusonyiwa.
Nze nga mutabani w’eggwanga lino era kulwa Katonda n’ensi yange, n’obwetowoza obungi ddala nkusaba Taata Omukulembeze w’eggwanga osnoyiwe Kyagulanyi ku mulundi guno. Ffenna tosobya wabula asonyiwa yasinga.
Ssebo President oli Taata, Muzadde ate asonyiwa akaseera konna. Tugenda kusigala nga tuli bakkakamu nga tusuubira nti byonna ebinaava gyoli bigenda tukuumira mirembe mu ggwanga lyaffe akaseera konna.
Yowaana: 8:7
Okuteeseganya kyekyokuddamu.
Kulwa katonda n’ensi yange.
🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬🇺🇬
Jose Chameleone.
LEONE ISLAND MUSIC EMPIRE

🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Poliisi y’e Mukono bakutte omuvuzi wa Boda Boda agambibwa okuba nga ye yavuga abatemu abatta omukyala omu China Yei Su 50, mu Sept – 2017. Rashid Mugaya yakkirizza nti yeyavuga mukwano gwe Fred Kaluga amanyiddwa nga Mulefu Ngatukaya Edward nga ono ali Luzira nga bagenda ku Nile Steel and Plastic Limited Factory n’ekigendererwa eky’okubba ssente bazigabane.
Ono yagiddwa Banda gyabadde yekwese okumala emyezi 1 wamu ne Piki piki egambibwa okuba nga gyebakozesa nayo yakwatiddwa. Ye Fred Kaluga yakwatibwa ku kigobero weboleza emotoka e Banda era nga yasangibwa ne Pistol era mukwekenenya kyazulibwa nti y’emu eyakozesebwa okukuba Yei Su amasasi 4 agamusangibwamu era nga Kaluga yakkiriza nti yeyamukuba amasasi gano. Ono era yagamba nti yenyigira mu bubbi ku Gimitex e Banda nga akozesa Pistol enjigirire.
Kigambibwa nti Pistol gyeyalina nnamba 201862/606 eyabibbwa okuva ku Supervisor wa Saracen ku Royal Van Zaten Limited factory y’ebimuli esangibwa e Namayiba Mukono. Abalala abakwatibwa kuliko; Ogwal, Kataala Naluuda, Omara ne Musinguzi era nga bano nabo basibwa bali Luzira.