Omubaka mu Palamenti akiikirira essaza ly'e Kajara , Micheal Kamusisha era nga wa kibiina kya NRM agamba nti ssiwaakuwagira kuggya kkomo ku myaka gya Pulezidenti kubanga abalonzi tebakkiriziganya nakyo.
Bw'abadde ayogerako ne bannamawulire ku Palamenti enkya ya leero, Kamugisha agambye nti eky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti abantu abasinga obungi kibawunyira ziizi era bakisimbidde ekkuuli nga nebwokungaanya abantu n'obawa ssente , beefuula abawagira ekitooso ky'okugikwatako songa tebakiriiko.
kati kitegeeza nti Kamugisha yeegasse ku babaka ba NRM omuli owa Disitulikiti y'e Soroti Monica Amoding, owa Lwemiyaga Theodore Sekikubo ne owa Manjiya , John Baptist Nambeshe okuwakanya eky'okugikwatako.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Police mu kibuga ky'e Busunju mu Disitulikiti y'e Mityana ewaliriziddwa okutulisa amasasi mu bbanga n'okukuba omukka ogubalagala mu kibinja ky'abavubuka ababadde bagezaako okulemesa omubaka wa Mityana ey'amaserengeta Henry Kamya
Makumbi ne Judith Nabakooba okwogerera mu bantu b'e Busunju mu kaweefube ow'okwebuuza ku balonzi oba bagikwateko mu magombolola okuli Namungo,Ssekanyonyi ne Busunju era nga babadde basembyayo Busunju.
Kaweefube ono bamutandikidde mu gomboloola y'e Namungo,Ssekanyonyi yogaayoga nga bali mu kibuga ky' e Busunju era eno abavubuka gyebatandikidde okwagala okulemesa ababaka bano okukuba olukungaana nga kino ky'ekiwalirizza Police okutulisa amasasi mu bbanga n'omukka ogubalagala.
Bano babadde bawerekeddwako amyuka RDC omukyala Esther Lunkuse nga bwebatuuse e Ssekanyonyi newabaawo abaagala okuwakanya ekiteeso kino era Police n'ebalemesa .
Ye omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Mityana Judith Nabakooba mukwogera agambye nti bano abawoza togyikwatako tebalina mirimu beenonyeza byabwe era abantu baleme kubawuliliza.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Abatuuze abasoba mu nkumi ebbiri (2000) boolekedde okutondoka enjala olwa nnyini ttaka asanyaawo emmere yaabwe yonna.
Bano abali ku kanaayokya ani batuuze mu muluka gw'e Kayebe mu gombolola y'e Kitenga e Mubende. Abatuuze bategeezezza nti emmere yaabwe yonna okuli muwogo, ebitooke , lumonde ne kasooli abakozi b'o mugagga babisanyaawo kubiragiro bye ekibaviiriddeko okusigala nga tebalina kyakulya.
Bano bagamba nti balabidde awo nga omugagga Mercy Ddungu nga asindise abakozi nebatandika okusaawa emmere yaabwe nga bagala abatuuze okwamuka ettaka abatuuze kyebawakanya nti ettaka lino yabba libbe.
Omubaka omukyala owa Mubende nga ye Minisita omubeezi owa Kampala Nalongo Benny Bugembe nga aliwamu ne RDC wa Mubende Beyunga Florence ne Police batUuse mu kitundu kino okusobola okulaba ekibadde wabula kibaweddeko nga ensuku zonna ziri wansi ku ttaka nga omugagga ayagala kusimbamu miti.
Nalongo Benny avumiridde ekikolwa kino era wano n'awera okunoonya omukyala ono okukwatibwa avunanibwe .
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Frank Gashumba ebibye byongedde okubijja, akwatiddwa ne PassPort bbiri nga ziri mu mannya ga njawulo nga kigambibwa nti zombi zize .
Wabula ate menne bwebakola bakola – Innocent Kasumba nga yeyita Mutabaazi Simon ekitongole ky'amagye ekikola ku konoonyereza misango, bwekyagenze okwaza mu maka ge basanzeemu ssitampu makumi abiri ez'ebitongole eby'enjawulo omuli ne Minisitule y'obutebenkevu, y'ebyobulimi Eby'ennyanja n'obulunzi.
Kigambibwa nti gyebuvuddeko abantu bangi babadde beemulugunya ku Frank Gashumba nga bwayonoonye amannya gaabwe nga yefuula akola okunoonyereza ku by'obugagga byabwe ku lwa Kalisoliiso wa Gavumenti.
Wabula era bwebagenze okwaza mu yafiisi ya Frank Gashumba, basanzeemu Passport eyookubiri nga eri mu mannya ga Gashumba Franco Malimungu–passport no B0958085, ne ssitampu endala nnyingi eza Minisitule za Gavumenti.
Bakuumirwa ku kitebe kya ba mbega e Kireka era enkya baakuleetebwa mu kkooti baggulweko emisango .
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omuwandiisi wa kkooti enkulu e Mukono Flavia Nabakooza alagidde Minisita w'ensonga z'amazzi ate nga ye mubaka akiikirira abantu ba mukono ey'amambuka mu Palamenti , Ronald Kibule wamu n'oluuyi lwa Namasole okulabika mu kkooti nga ennaku z'omwezi 9 omwezi Museenene omwaka guno okutandika okuwulira omusango ogubavunaanibwa.
Flavia asoose kwetondera kkooti oluvannyuma lw'abatuuze b'e Kigaya okuggya ku kkooti olw'okutaano lwa ssabbiiti ewedde wabula newatabaawo kuwulirwa kwa musango gwabwe gwebaawawaabira minisita ono nategeza nti yadde banalabikako eri kkooti oba nedda bakugenda mumaaso nokuwulira omusango.
Wabula bo abatuuze omubadde ne bannamukadde abatemera mu myaka 90 balabiddwako nga bibasobedde oluvannyuma lwa kkooti okutwala akaseera nga balindirira oluvannyuma n'etuula wabula enjuyi ezawawaabirwa obutalabikako mu maaso g'omulamuzi.
Banno balumye n'ogwengulu nebategeeza nti sibaakukoowa kwewuuba mu kkooti newankubadde Minisita Kibule agaanye okujja mu kkooti era nebagamba nti bassasaanya ensimbi nnyingi mu ntambula okuva e Kigaya okutuuka ku kkooti ezisoba mu 500,000.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze mu kabuga k'e Tirinyi ku luguudo oluva e Iganga okudda e Mbale omukazi wa myaka 30 bweyeeyimbyemu ogwakabugu n'afa oluvannyuma lw'okwekebeza n'asanga ng'alina akawuka ka mukeneya .
Mwagale Brenda nga y'abadde Maneja w'ekisulo ky'abagenyi ( Lodge) ekisangibwa mu kabuga k'e Tirinyi mu Disitulikiti y'e Kibuku .
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Police esambazze engambo ezibadde zitandise okubungeesebwa nti Omuduumizi wa Police mu ggwanga General Kale Kayihura ali mu buwambe.
Kino nno kiddiridde okutwala abamu ku bakulu mu Poliisi omuli ; SSP Nixon Agasirwe mu kkooti y'amagye e Makindye nebaggulwako emisango gy'okubuzaawo munnansi w'eggwanga lya Rwanda.
Bw'abadde ayogera mu lukungaana lwa Bannamawulire, Omwogezi w'ekitongole kya Police Asan Kasingye agamba nti amawulire gabadde gayita ku mikutu emikwanira wala nga Ssaabapoliisi bw'ali mu buwambe, wabula n'ategeeza nti Kayihura ali na ku mirimu gye akakkalabya
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Waliwo amaka ku kyalo Bayitambogwe agasangibwa mu Disitulikiti y'e Mayuge agaguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw'omusajja abadde agenze okuziika ssezaala we omuti okumugwira n'akalirawo.
🎙️ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omubaka mu Palamenti owa Kasanda ey'amaserengeta Semeo Nsubuga Muwanga asekeredde abo ababadde bagamba nti abantu mu kitundu kye tebawagira kya kukwata ku semateeka w'eggwanga okukyusa ennyingo ya 102b.
Semewo Nsubuga bino abyogeredde ku kyalo Nkokoma mu Ggombolola ye Kiganda e Mubende era n'asekerera abo bonna ababadde bagamba nti tasobola kulinnya bigere mu kitundu ky'akiikirira n'agamba nti bano boogera byabwe.
Annyonnyodde nti abantu bonna bazzenga asisinkana mu kitundu kino bazzenga bamusaba okukwata mu ssemateeka okuggyawo ekkomo ku myaka gy'o omukulembeze w'eggwanga era n'ategeeza nti Banna Mubende bawagizi nnyo ba NRM nga n'o lutalo olwaleeta eno mu buyinza gye lwatandikira.