Ssaabaduumizi wa police avumiridde ebikolwa eby’obulumbaganyi ku Police ye Kidodo e Kasese.
Kayihura yadduse za mbwa e Kasese oluvannyuma lw’obulumbaganyi buno omwafiiridde omuserikale wa Police Charles Kasimba gattako n’omulumbaganyi omu Mbusa. Wabula omuserikale omulala Nelson Bwambale yabuuseeyo na biwundu.
Kayihura agamba nti obulumbanyi buno buli ku ggwanga ne bannansi, wabula n’akukkulumira obugayaavu obwabadde ku Police eyo wakati mu bulumbaganyi.
Ssaabapoliisi alabudde abo bonna abenyigira mu bikolwa bino nti balye kamanye ng’akoza n’owebbwa kubanga amateeka gaakubassaako omukono ogw’ekyuma.
Kayihura yakyaliddeko omuserikale eyabuuse n’ebiwundu Nelson Bwambale mu ddwaliro eriri e Kilembe.
ποΈ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Abakungubazi e Namasagali mu disitulikiti ye Kamuli basattira wamu n’okuzikubamu amakiikakiika lwa mutuuze munnaabwe kulaama bamuziike mu ntaana ya fuuti 100.Β
Nansololo ye yafudde mu Gombolola ye Namasagali mu disitulikiti ye Kamuli wabula abakungubazi bagenze okuggyayo ekiraamo nga ayagala kumuziika mu ntaana ya fuuti 100 nti abasezi baleme okumulya. Ekireetedde abakungubazi okutunula omukonga nga kino tebakirabangako wadde okukiwulira era bwebatyo nebongezaayo okuziika nga bibasobedde kubanga entaana entuufu eba ya fuuti 7.
ποΈ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Ssemaka e Bamunaakika atemyetemye mukyalawe kata amutte lwa kumumma kaboozi ka kikulu.Β
Sam Mawangala yaatemyetemye mukyalawe Annet Gwokyala lwakumumma ka Kyagera okuva akalulu lwekaggwa.
Abafumbo bano ababiri babadde bawagira abesibyewo ku bwa Ssentebe bwa LC 111 banjawulo, omwami gw’awagira yeyawangula bw’atyo omukyala n’akwatibwa ensaalwa era okkakkana ng’akaboozi omwami akafuuye mu ngombe. Ekyo kyekijje omwami ono mu mbeera bw’atyo nasanjaga mukyalawe ng’amutema ebiso okubula okumutta. Wetwogerera nga omukyala addusiddwa mu ddwaliro lye Wobulenzi ye omusajja agombeddwamu obwala Police Β atemeza mabega wa mitayimbwa nga police bw’ekola okunoonyereza.
ποΈ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Kooti e Kasangati enkya ya leero eyisizza ekiragiro eri aduumira Police mu ggwanga General Kale Kayihura ne Wesley Nganizi aduumira police mu mambuka ga Kampala okwewozaako nga tezinnawera ssaawa mwenda eza leero, ku musango gwa Dr. Kizza Besigye gweyawawaabira ogw’okumusibira mu makage.
Dr. Besigye Kati amaze ennaku 31 mu busibe mu makage okuva akalulu k’obwa Pulezidenti lwekaggwa mu gwokubiri nga Police egumbye mu makage.
Kino kiddiridde Ssaabawaabi
ποΈ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Namulanga Ronald myaka 34 ye yeggye mu budde nga yaakamaliriza embaga mawuuno mu gombolola ye Ibukulu e Namutumba. Β
Asangiddwa ng’alengejjera ku muti waggulu nga waliwo akabaluwa akabadde kalaga amabanja agamuyinze obuzito agateeberezebwa okuba nga yageewoze okukola embaga makeke.
Police eyitiddwa era n’emusalayo ku muguwa era n’esaba abantu okwebuuza ku bannaabwe nga tebannasalawo ku bintu ebimu.
ποΈ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omuserikale wa police abadde asaabalira ku Boda Boda mu bitundu bye Bukedi afunye akabenje ku piki kw’abadde asaabalira n’afa ng’atuusibwa mu ddwaliro.
Namuleyi David nga abadde akulira Police mu kifo ekimu y’afudde ate abadde a muvuga Wakholi Joseph Β ye ali mu ddwaliro apookya
Ayogerera police mu Bukedi region Kamura Soali agamba nti enkuba ebadde ofudemba y’evuddeko kalumanyera ate nga nabo babadde bavuga ndiima. Kitalo.
ποΈ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Police e Iganga esitukiddemu ng’eyatega ogw’ekyayi okunoonyereza ku ngeri omupangisa gyeyakubyemu Landlord we n’amutta bweyabadde agenze okubanja ez’obupangisa .
Kino kiri mu gombolola ye Bualamagi mu disitulikite ye Iganga .
Litusakiddwa Willy Basoga Kadaama e Iganga .
ποΈ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Omusajja kaggw’ensonyi Β e Jina eyagombeddwamu obwala aggulo lwakukabasanya muwalawe myaka 13 n’amusiiga obulwadde , asindikiddwa mu kooti enkulu gy,aba avunaanibwa.Β
Kaggw’ensonyi ono Sheikh Juma Nyiri 45 eyasindikiddwa ku alimanda e Luzira aggyiddwayo Police oluvannyuma lw’okutemezebwako nnyina w’omwana nti yamufunyisizza olubuto .
ποΈ Featured Radio Shows
Binsangawano 6:00 AM – 10:00 AM
Zuukuka n'akamwenyumwenyu n'abakozi baffe ab'oku makya abatandika olunaku lwo n'ennyimba eziri ku mulembe, ezirimu okusesa, okusanyusa, n'eby'amasanyu n'ebyemizannyo nga biri…
Emambya Esaze 4:00 AM – 6:00 AM
Tandika olunaku lwo n'ebikulu ebisinga n'amawulire g'oku makya nga owuliriza Kakos kumakya.
SIMBA TAXI
Connie Nalugwa - Nannyini tutu! akuzannyira ennyimba ezisanyusa ez'okumakya. Connie akuletera amawulire agakwata ku kitundu agagabanyizibwa abawuliriza. Mu pulogulaamu eno,…
Wabaluseewo Β katemba e Iganga abakungubazi babunye emiwabo ng’omukazi gwebabadde bagenda okuziika bw’akubye omwasi era n’asaba n’ekyokunywa.
Bono bibadde ku kyalo Nakalama trading center Β okuliraana ekibuga kye Iganga .
Lino litusakiddwa Solomon Baleke.