Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 615 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

2016 gubadde mwaka gwa bizibu eri eggwanga – Besigye

January 2, 2017 · Mubiru Ali

Col . Dr. Kizza Besigye agamba nti omwaka oguwedde 2016 gubadde mwaka ogufumbekeddemu ebizibu eby’enjawulo eri bannayuganda.

Bwabadde ayogerako mu lukungaana lwa Bannamawulire ku yafeesi ya FDC esangibwa ku luguudo Katonga e Nakasero mu Kampala, Dr. Besigye agambye nti omwaka oguwedde mubaddemu; ekibba ettaka, okubba obululu, ekitta bantu e Kasese mu bitundu bya Rwenzori, okutta abakulembeze b’obuyisiraamu, enjala ani amuwadde akatebe eserengesezza abangi e kalannam0 , okuggala ettendekero ekkulu ery’e Makerere n’amalwaliro okuba mu mbeera embi ddala wamu n’ebirala kamaala.

Wabula agamba nti ebintu eby’enjawulo tebitambudde bulungi omwaka oguwedde, naye ate eggwanga lyattu Yuganda lyafuna ku ssanyu oluvannyuma lwa ttiimu y’eggwanga  –  Uganda Cranes okuyitamu okugenda mu mpaka z’ekikopo ekiwakanirwa amawanga g’olukalu lwa Africa  – Africa Cup of Nations ezigenda okuyindira e Gabon mu Gatonya w’omwaka guno .

Yuganda ebadde amaze emyaka 38 nga teyitamu kwetaba mu mpaka zino.