Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 288 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

2 bakwatiddwa lwakweyita bakozi ba Anti Corruption Unit

July 15, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kakolera wamu ne Uganda Police Force bakutte Turyarugayo Edward aka Charles Ocom ne Babibaasa Frankline aka Maj. Muhindo nebabatwala mu Kkooti y’Omulamuzi wa Mwanga II nebavunaanibwa emisango okuli okweyita kyebatali, okugingirira wamu n’okufulumya ebiwandiiko ebijingirire.
Bano basindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 27/07/2022. Kigambibwa nti bano bano babadde beyita bakozi b’Akakiiko kano nga bagingirira ebiwandiiko byebagamba nti biva wakulira Akakiiko kano Brig. Gen. Henry Isoke eri abakulembeze ba Disitulikiti ez’enjawulo nekigendererwa ekyokubabbako ensimbi.