Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 68 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

2 bagombeddwamu obwala Police lwa kwefuula kyebatali ne babba ettakka .

July 21, 2016 · Mubiru Ali

Police egombyemu obwala Omusajja n’omukazi ababadde beefula kyebatali nga beeyita abaana b’omugenzi Johnson Kasozi e Mutundwe nebatunda erimu ku ttaka lye ery’ e Mutundwe .

Kagimu Ssaava eyeeyita Henry Muwonge ne Juliet Mugerwa eyeeyita Nassozi Kasozi batemeza mabega wa mitayimbwa ku Police ya Jinja Road , Juliet yafera Gideon Kibirango n’amuguza ettaka eritali lirye ku bukadde 50 obwa Yuganda

Patrick Onyango omwogwzi wa Police mu Kampala ategeezezzza olukungaana lwa abannamawulire ku kitebe kya Police mu Kampala nti abantu bano bombiriri  baagingirira ebiwandiiko omuli ekyapa, ebbaluwa ekakakasa okufa kwa Muwonge n’endala eraga obuvunaanyizibwa ku kuddukanya ebintu by’omugenzi ono  nebatunda ettaka .

Onyango agamba nti bano bagenda kuvunaanibwa emisango gy’okwefuula kyebatali n’okufuna ssente mu ngeri y’onkuluppya.