Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 291 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

2 bafiiridde mu kabenje 9 bapookya – Mityana

December 19, 2016 · Mubiru Ali

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje ,9 balumiziddwa oluvannyuma lw’emmotoka okuva ku kkubo n’etomera abantu 2 nebafiirawo mbulaga ate 9 nebabuukawo n’ebisago ebyamaanyi .

Akabenje kagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana ku kyalo Bukoma ekisangibwa mu Divizoni ye Ttamu mu Disitulikiti y’e Mityana .

Omusasi waffe Joseph Balikuddembe agamba nti Takisi nnamba UAZ 016D ebadde eva e Kampala nga eyolekera Mityana evudde ku kkubo neyeevulungula emirundi egiwerako era abagibaddemu omwenda nebaddusibwa mu ddwaliro e Mityana ate bo ababiri ababadde ebbali nebakalirawo .

Ye ayogerera Police mu ttundutundu lya Wamala, Afande Nobert Ochom agamba nti akabenje kano kavudde ku kuvugiza kimama wamu n’endiima olw’okwagala okuvuga emirundi emingi.