Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

2 bafiiridde mu kabenje, 7 bapookya – Bombo

July 19, 2016 · Mubiru Ali

Abantu babiri bafiiriddewo mbulaga ate abalala musanvu   ne baddusibwa mu ddwaliro ly’amagye e Bombo nga bapookya oluvanyuma lwokugwa ku kabenje e Bombo ku mailo 19 ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu .

Ayogerera Police mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agamba nti Takisi namba UAV  397 K  ebadde eva e Kampala ng’edda Luwero etomereganye mu bwenyi ne mmotoka ya buyonjo kika kya Hypsum namba UAN 333X ebadde eva e Luwero nga edda Kampala.

Abafudde tebannategeerekeka naye emirambo giggyidwawo negitwalibwa mu ddwaliro lya City Council mu Kampala .

Zo emmotoka ezikoze akabenje ziggyiddwawo nezitwalibwa ku Police e Bombo .