Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 884 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

2 Bafiiridde mu Kabenje, 2 bapookya – Kisaasi

May 9, 2017 · Mubiru Ali

Abantu babiri bafiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde ku luguudo mwasanjala olwa Northern By – Pass nga waakayita ku nkulungo y’e Kisaasi ng’odda e Kyebando.

Akabenje kano kavudde ku mmotoka eya Fuso UAG 130L wamu n’endala eya Mini Pajero UAY 747V nga eno ebadde evugibwa Joshua Masagazi era nga eno ye afiiriddewo mbulaga wamu n’omwana omuwala Christabel gwabadde naye .

Abalala balumiziddwa kubaddeko Martin Masaaba wamu ne Nina Masaaba nga bano baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago gyebajjanjabirwa . Ye omugoba wa mmotoka eyookusatu ebadde mu kabenje kano Toyota Nadia UAP 192Y, ataddeko kakokola tondeka nnyuma era nga omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano atugambye nti emmotoka zonna ziggyiddwayo nezitwalibwa ku Police yooku luguudo Kira. Kitalo.