Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 152 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

18 bagombeddwamu obwala, Magaziini n’amasasi 128 – Nakasero

December 27, 2016 · Mubiru Ali

Wabaddewo ekikwekweto ekikoleddwa ab’ebitongole ebikessi enkya ya leero ku Kitebe ky’abatabbuliiki e Nakasero nga basinziira ku mawulire gebaafunye mu bamu ku basibe abavunaanibwa ogw’okutemula abayisiraamu. 

Mu kikwekweto kino bayodde abantu 18, basanzeemu zi Magazine z’amasasi ssatu, n’amasasi 128 wamu n’ekiwandiiko .

Abakwatiddwa mulimu; Isabirye Abdalah, Ssesanga Derrick, Ssenyonga Muhammad, Kabwama Juma, Hassan Musa, Abdalah Aman, Ssekamatte Muzamiru, Ssevuma Hasqnn, Ssebandeke Muzamiru, Ssekandi Musa, Ashraf Mawanda, Lubega Abdalah , Mukasa Hassan, Muwanga Umar, Opendi Sam, Owere John, Ssemanda Musa .

Omwogezi wa Police mu kampala n’emiriraano, Emilian Kayima agamba nti ekikwekweto kino kikoleddwa wakati w’essaawa kkuminabbiri  n’emu ezookumakya so ssi kiro nga abalala bwebabadde babibungeesa .  Agamba nti mu birala ebiggyiddwayo mubaddemu emitego, obusaale  n’ebyambe 2.