Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 316 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

120 bagombeddwamu obwala Police e Namugongo

June 3, 2017 · Mubiru Ali

Abantu 120 batemeza mabega wa mitayimbwa ku Police y’e Kira oluvannyuma lw’okugombwamu obwala ku nga beenyigira mu bumenyi bw’amateeka e Namugongo ku lunaku lw’abajulizi.

Okusinziira ku Mwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano,  Emilian Kayima agamba nti emisango egikwasizza bano mulimu obubbi obutonotono,  obufere,  okusala ensawo,  okufuna ssente mu ngeri y’olukujjukujju wamu n’okunywa enjaga n’emirala.

  Abamu ku bano bakwatiddwa nga okusaba kugenda mu maaso ate abalala nga okusaba kuwedde.