Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 225 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

August 31, 2025 · Mubiru Ali

Omulamuzi w’eddaala erisooka Entebe Edgar Tibayeita yasalidde Munnakibiina kya National Unity Platform Juma Musuuza aka Madubarah nga mutembeeyi wangatto ekibonerezo kyakusibwa emyezi 12 oluvannyuma lwokumusingisa omusango gwokusaasanya obubaka obwobulabe ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Sipiika Anita Among, n’omuduumizi w’Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba nekigendererwa ekyokubakyayisa wamu n’okubalengezza.
Madubarah yasingisiddwa emisango 6 nga kigambibwa nti omwaka oguwedde mu October, Musuuza ngali mu Disitulikiti y’e Wakiso yeyambisa omukutu ggwe ogwa Tiktok Madubarah UG nategeeza nti; “Singa Museveni (H.E) akwasa mutabani we omutamiivu obuyinza, Eggwanga lyakusaanawo mu naku 2, Bannayuganda tusabire nnyo Eggwanga lyaffe era naffe twesabire.” Kkooti era yategeezeddwa nti mu mwezi gwegumu ono yaddamu nafulumya akatambi nga agamba; “Singa Muhoozi anatwala obuyinza okuva ku kitaawe, Eggwanga lyakusaanawo mu naku 2 ku ngeri gyanywamum ate buli avaayo okwogera bajja ku kutta oba bakukwate..”
Kkooti egamba nti era Musuuza yavaayo nategeeza nga Sipiika Anita Among; “Ngakozesa ssente y’omuwi w’omusolo azimbye ennyumba esinga State House wamu n’okugula ebizigo ebyeyerusa..”
Omuwaabi wa Gavumenti yavuddeyo Paul Byamukama yavuddeyo nasaba omulamuzi okuwa Madubarah ekibonerezo ekyamaanyi kyakusibwa emyaka 7 oba okuwa engasi yabukadde 15.
Omulamuzi Tibayeita yategeezezza nti Oludda oluwaabi lwalemereddwa okuleeta obujulizi obuluma Madubarah nti muzzi wamisango owolulango nabwekityo namuwa ekibonerezo kyakusibwa emyezi 12 ku buli musango omukaaga wabula nategeeza nti ebibonerezo bino byakutambulira wamu era natoolako emyezi 10 gyamaze ku alimanda bwatyo nalagira asibwe emyezi 2 mu kkomera e Kigo.
#ffemmwemmweffe