Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 205 listening Simba FM Live

Wangaala ayi SSaabasajja Kabaka, Kabaka bamwanjulidde emotoka ekika kya Rolls Royce ng’ekirabo ky’amazaalibwa

July 17, 2022 · Mubiru Ali

Omwana wa muteesa, Ronald Muwenda Mutebi II akalidde nteende ku Namulondo y’aba jjaja be alamula Obuganda. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bamwanjulidde emotoka ekika kya Rolls Royce nga ekirabo ky’amazaalibwa ge age 67.

Ssaabasumba w’Ekereziya y’aba Orthodox mu Uganda, Metropolitan Leronymos Muzeeyi yakulembeddemu okusaba ku mukolo gw’amazaalibwa ga Ssaabasajja era ono asabye Katonda ayambe Beene atebuke enkwe z’ababi amwongere n’obulamu.