Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 198 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

100 abaagobwa ku ttaka bayagga – Mubende

January 24, 2017 · Mubiru Ali

Obulamu bw’abantu abasukka mu kikumi abaagobwa ku ttaka nebagumba ku yafeesi y’omubaka wa Pulezidenti e Mubende ssabbiiti nnamba eyise, buli mu matigga mu kiseera kino olw’okusula ebweru wamu n’okubulwa ekyokulya.

Abantu bano abakulemeberwamu Ngabirano John, Sarah Tumuhayise ne Muhumuza Amos, baagumba ku yafeesi y’omubaka wa Pulezidenti e Mubende nga baagala abafunire awookwegeka oluba awamu n’ekyokuzza eri omumwa, nga  bagamba nti baali bagobwa okuva ku ttaka ly’ebibira erya  Kayebe erisangibwa mu ggombolola y’e Kitenga e Mubende.

Omubaka wa Gavumenti e Mubende, Florence Beyunga, oluvannyuma lw’okubasisinkana, yabalagira okwamuka woofiisize mu bunnambiro era n’alagira Police n’ebagoba era bwebatyo nebagumba mu kibangirizi ekyali eky’ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA era nakati mwebakyali .

Ngabirano John ategeezezza Luboggola Simba nti bakungubagidde essabbiiti nnamba basula mu mpewo n’abaana baabwe era nga tebalina na kyakulya nga kino kiyinza okubaviirako  okufa

enjala.