🎥 Gasimbagane-Rwomushana-Okuggwa kwa Gavumenti kutandikidde mukufuuka nsolo. Brutality! failed state
Gasimbagane (Video) Host: Peter Kibazo; Charles Rwomushana, John Kakande, Gerald Mutenyo ne Harunah Kanaabi …
✨ *SIMBA FM Live*: https://www.radiosimba.ug/stream

🚨 Wuuno omukazi anoonya musajja eyabadde amukwana amugguleko omusango olw’okumuleka mu kifo ekiccakalirwamu nga tasasudde byakulya bye yamutumiriza ate n’omusajja yennyini bye yalidde.
Ooo….bambi mukazi wattu!!
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

🗳️ Kyaddaaki kirabika Gavumenti yaggyeewo envumbo ku mukutu gwa FaceBook emaze emyaka kumpi emyaka 6 nga Bannayuganda bakozesa VPN okuguna. Abantu bagamba nti akawungeezi keggulo basobodde okukozesa omukutu guno bulungi. Wabula Gavumenti tenavaayo na bubaka butongole ku kino.
Ye Minisita Balaam Barugahare yagenze ku mukutu ggwe ogwa X neyebaza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olwokuzzaako Face Book.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

🚨 Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala ngono yali mu mitambo gy’omusango oguvunaanibwa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye ne banne, Omulamuzi Emmanuel Baguma alagidde omuduumizi w’Egye ly’eggwanga erya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba okuwaayo okwewozaako kwe mu bwangu ku musango ogwamuguddwako Dr. Besigye nga agamba mbu yamwewerera okumutta.
Bya Christina Nabatanzi
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

⚽ National Environment Management Authority (NEMA) Uganda, Kampala Capital City Authority – KCCA wamu ne Uganda Police Force bakoze ebikwekweto mu Kampala okuli: Nakawa, Kawempe, Makindye, Rubaga, ne Central nebawamba ebyuuma n’emizindaalo okuva mu bifo ebisanyukirwamu olwokulekaanya muziki.
Ebifo 9 byebyafuuziddwa era ebyuuma 153 byebyayoleddwa. Balabudde era nebasiba ebifo ebyasangiddwa nga tebirina layisinsi.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

⚽ Abasajja 4 abagambibwa okutta omuzannyi wa Rugby Sydney Gongodyo basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya KCCA nebavunaanibwa omusango gwobutemu. Basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 23-June.
Bano kuliko: Mugwiisa Obed 39, omuvuzi wa booda booda omutuuze we Nsimbiziwoome, Eli Mondoni nga Delivery Agent wa Pharmacy era omutuuze w’e Luzira Port Bell, Joseph Owino Omukuumi wa Kkampuni y’obwa nnannyini ne Kabugo Henry nga muvuzi wa booda booda e Bukoto – Old Kira Road mu Nakawa.
Oludda oluwaabi lugamba nti mu mwezi gwa June guno ku luguudo lwa Upper Naguru East Road mu Kampala n’ettima erisukiridde bakuba Sydney Gongondyo Gabi nebamutta nga bamuteebereza okubeera omubbi.
Bano bakwatibwa ku katambi nga bakuba Sydney ow’emyaka 27 oluvannyuma lwokumuteebereza okunyakula akasawo k’omukazi.
Bano bamukubya bbuliti ssaako amatafaali nafiira mu ddwaliro.
Omulamuzi Edgar Karakire tabakirizza kubaako kyeboogera kuba omusango ogubavunaanibwa gwa nnaggomola nga guwulirwa Kkooti Enkulu yokka.
Ban

⚽ Abantu 4 abagambibwa okutta omuzannyi wa Rugby Sydney Gongodyo batwaliddwa mu Kkooti ya KCCA.
Bya Christina Nabatanzi
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

🗳️ Gen. Muhoozi Kainerugaba alinamu! 40 bweddu!
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug
🗳️ Ebitonde ebyewalula byokka byebikirizibwa mu ntobazi – Maj. Gen. Otafiire
Minisita avunaanyizibwa ku butonde bw’Ensi n’amazzi Maj. Gen. Kahinda Otafiire; “Ebyewalula byokka byebirina layisinsi ebikiriza okubeera mu ntobazi. Mmwe abali eyo abanenya abantu abamu mu National Environment Management Authority (NEMA) Uganda nga ED Dr. Barirega Akankwasah olwokusengula abantu n’okumenya ennyumba z’abantu mu ntobazi mukimanye.”
Minisita Otafiire yasiimye omulimu omulungi ogukoleddwa NEMA, era nakubiriza Dr. Batitega okugenda mu maaso.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

