Sports
0

Rajiv yetisse olunaku olusooka mu NRC e Kapeeka

Rajiv Ruparelia yakulembedde emotoka z’empaka olunaku olusoose mu National Rally Championship (NRC) e Kapeeka, eziyindira e Luweero. Rajiv ne Co-Driver we Enock Olinga bavugiddewo eddakiika 16 ne sikonda 12. Bano badiriddwa Omar Mayanja avugiddewo eddakiika 17 ne sikonda 25, kuzzeeko Yasin Nasser eddakiika 17 ne sikonda 27, Ronald Ssebuguzi eddakiika 17 ne sikonda 40, Arthur Blick eddakiika 18 ne sikonda 16.

More Similar Posts

Menu