Poliisi ezzeemu okunoonyereza ku Munnamateeka eyatiddwa mu bbaala

Uganda Police Force mu Kampala etandise okunoonyereza ku ngeri Munnamateeka Tony Ngobi Kanalo gyeyafuddemu olw’ebiwundu byeyafunye ku mutwe oluvannyuma lw’olutalo olwabaddewo mu bbaala e Mengo mu Kampala.
Olutalo lwaliwo ku ssaawa nga musanvu ngabukya nga 8-October-2021 ku bbaala ya T.1 e Mengo.
Omumyuuka w’omwogezi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire agamba nti Kanalo yasindikibwa kanyama akuuma ku bbaala nakuba omutwe ku nkokoto oluvannyuma naddusibwa mu Ddwaliro, Kanalo yafudde oluvannyuma lwokufuna blood clot mu mutwe.
Abaaliwo bagamba nti ku lunaku olwo Kanyama yakuba Munnamateeka Kanalo naggwa wansi nasookawo omutwe. Okusinziira ku Harold Kaija omumyuuka w’omwogezi wa Forum for Democratic Change-FDC, agamba nti Kanalo yasuulibwa wabweru w’ebbaala okumala akabanga nga tategeera, omuzira kisa weyamusanga nga wayiseewo essaawa namutwala mu ddwaliro.
Basooka ku muddusa ku Lisa Medical Centre okufuna obujanjabi obusookerwako oluvannyuma natwalibwa mu Ddwaliro e Mengo gyeyafiiridde.
Kaija agamba nti Kanalo yafa olw’ebisago ebyamuviirako okusanyalala oludda olwa kkono ne blood clot mu mutwe eyakosa obwongo. Yalongosebwa obwongo ku lwokutaano wabula nafiira mu ICU.
Luke agamba nti kanyama eyategeerekese nti ye Muhammad Lubega yakwatiddwa nga yasooka kuvunaanibwa kukuba muntu wabula omusango ogumuvunaanwa gwakyuuse nga kati avunaanibwa gwakutta muntu oluvannyuma lwa Kanalo okufa.
Poliisi egamba nti kati enoonya nannyini bbaala ne maneja babitebye lwaki baggulawo ebbaala nga zaggalwa nga ate bakolera namubudde bwa curfew.

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro